Abalongoosa enguudo mu Kampala bakedde mu eklezia e Lubaga
Loodi Meeya wa Kampala agamba nti wakyaliwo obwetaavu bw’okwongeza emisaala y’abakozi abalongoosa ekibuga okulaba nti embeera yaabwe erongookaLukwago abadde mu missa ku lutikko e Lubaga, abakozi bano gye beetabyemu okwebaza omutonzi olw’okuteeka omukono ku ndagaano empya okugenda mu maaso nga bakola egyabwe. Jjukira nti bano baludde nga basika omuguwa n’abakulembeze b’ekibuga.