Amazzi ga kiragala mu Nalubaale: Okugalongoosa kifuuse kya bbeeyi
Ekitongole ki National Water and Sewerage Corporation kitubuulidde nga bwekikozesa ensimbi buwanana okulongosa amazzi agasanyazibwa eri bannakampala, nga kino kiddiridde okweyongera kw’ebikyafu ebituukira ddala mu nyanja Nalubale.
Bano batubuulidde nti buli mwezi bakozesa ensimbi ezisukka mu kawumbi kamu mu bukadde bitaano okulongoosa amazzi agakola mu kampala mwokka, olwamazzi okuba amakyafu ekisusse.Kyoka bagumizza bannakampala nti newankubadde bayita mu bugubi okulongoosa amazzi gano, naye gebasasanya mayonjo ekigwanidde.