‘Ebyange babitunda’: Eyali ‘Katikkiro’ wa Rwenzururu asobeddwa
Nga 27 November 2016 , oluvanyuma lw'obunkenke obwatwala omwezi ogusukka mu gumu , amagye ga UPDF gaalumba olubiri lw'omusinga , omusinga nakwatibwa n'abantu abalala abasuka mu bikumi ebibiri . Gwegwali omulundi ogusoose omukulembeze ow'ennono okukwatibwa . Oluvanyuma lw'emyaka Musanvu bangi ku baakwatibwa omuli n'omusinga bawebwa ekisonyiwo okujjako eyali Katikkiro we Thembo Kitsumbire. Ono agamba nti wakiri okufiira mu Kampala naye nga tasabye kisonyiwo . Atubuulidde enaku gyalimu eviiriddeko n'ebyobugaggabwe okutundibwa.