Emisinde gya Kabaka : Abagula emijoozi beeyongedde
Esigadde enaku ssatu zoka empaka z’emisinde egy’okukuza amazalibwa ga Sabasajja Kabaka ag’emyka ensanvu gigibweko akawuwo ku Sande eno mu Lubiri e Mengo.Kati no bannauganda bakweyiwa mubingi ku kitebe ky’obwakaba e kukizimbe Bulange e Mengo okugula emijoozi gyebanayambala nga badduka emisinde gino egy'ebyafayo.Mubaguze emijoozi olwaleero mumubadde aba Hanifa Karadi Foundation okuva mu Kawempe North nga bano baguze emijoozi gyabukadde busatu nekigenderwa eky’okuwagira entekekateeka ya sabajja Kabaka ey’okulwanyisa ekirwadde kya Sirimu.Minisita w’emizannyo n’okwewumuzaamu e mango yayaniriza bano e Mengo n’okubakwasa emijoozi.