Enjega eyagwa e Kiteezi : KCCA egamba telina zaakuliyirira baakosebwa
Kizuuse nti ekitongole ekiddukanya ekibuga ki KCCA tekirina sente zigenda kuliyirira abantu abafiirwa obulamu n’ebyabwe mu njega eyagwa mu kitundu ky’e Kiteezi gyebaali bayiwa kasasiro.Bano bagamba nti balinze okuwabulwa kwa mubalirirzi wa bbeeyi y’ebyobugagga owa gavumenti oba Chief Gavumenti valuer okuvaayo n’omuwendo omutuufu ogulina okuweebwa abantu bano.Kyoka n’essente ezirina okuyimiriza emirimu egikolebwa mu kifo kino nazo mu mbalirira y’omwaka gwe’ebyensimbi ogujja teziriimu, bino bibadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebizimbibwa mu ggwanga.