Enju y’omugenzi Kagezi: Abaana be balumbye abaagibabbako
Abaana bamulekwa b'omugenzi Julius Kagezi nga bali wamu n'abooluganda lwabwe, baalumbye amaka g'omutuuze Hakim Lwanyaga nebalwanagana n'ab'omunju ye nga baagala abaviire mu ge bagamba nti gaali maka gaabwe nga kitaabwe tannafa.Emabegako twakulaga emboozi ya family eyali elaajana olw'abantu okudyekadyeka kitaabwe nebamutwala mu buyeekera e Congo nafiirayo olwo bbo nebatandika okweddiza emmaali y'e n'okugitunda.Abaana bano bagamba nti si baakussa mukono, okutuusa nga buli kya kitaabwe bamaze okukyezza era ng abatandikidde ku Lwanyanga ono gwe basinga n'okusimbamu olkunwe okuba emabega w'okutwalibwa kwa kitaabwe.