Jamiru Mukulu aloopye ab’ekitongole ky’amakomera ew’omulamuzi
Jamir Mukulu, agambibwa okuba nti ye yali omuduumizi w'ekibinja ky'abayeekera ba ADF ategezeezza omulamuzi wa kkooti nga bw'atulugunyizibwa ebitagabika mu kkomera eyo gyali.
Mukulu agamba nti taweebwa mmere emala, bamukuba nga ne bweyalwala ssenyiga omukambwe abakulu bagaana okumujajjaba nga kakube okugenda mu kabuyonjo takkirizibwa olw'okuba nti yayawulwa ku basibe banne.
Ebigambo bya Mukulu, biwalirizza omulamuzi okubaako w'ayingiza Mukulu ono baamwekebejje bulungi kizuulwe oba nga abadde atulugunyizibwa.
Ono abadde akomyewo mu kkooti okuwakanya eky'okumugattako emisango emiggya nga ayagala basooke bamalirize omwenda egy'asooka okumuggulwako nga yakakwatiibwa mu ggwanga lya Tanzania.