OKUKOLA ENGUUDO MU GGWANGA: Gavumenti egamba zaayimirira lwa bbula lya nsimbi
Minisita omubeezi akola ku by’enguudo Musa Ecweru abuulidde palamenti nti enguudo ezimu ezikyali mu kukolebwa zayimirira nga omutawaana guvudde ku bbula lya nsimbi okusasula kampuni ezizikola.
Kino kiddiridde ababaka okulaga obwennyamivu olw’obubenje okweyongera naddala ku nguudo ezikyazimbibwa , nga mu bangi abazze balugulamu obulamu kwekuli n’omusuubuzi Rajiv Rupareria eyafiira e Salaam.
Sipiika amuwadde obutasukka lwakubiri lwa wiiki ejja nga aleese alipoota enyonyola embeera enguudo za Uganda zonna mweziri.