Omupiira gw’amasomero ga siniya: Essomero lya Budo S.S liwangudde empaka z’omupiira gw'abalenzi
Essomero lya Budo S.S liwangudde empaka z’omupiira gw'abalenzi mu mpaka z'eggwanga ez'amasomero ezimazze sabiiti biri nga ziyindira mu district ye Bukedea.
Budo ekubye St.Mary’s Kitende 6-5 mukusimulagana penati oluvanyuma lw'omuzannyo guno okuggwa amaliri ga 0-0.
Kati guuno mulundi gwa kusaatu nga Buddo S.S ewangula ekikopo kino.