Laddu e Masaka esse omusomesa n’erumya n’abayizi munaana
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Sserinya mu muluka gwa Bulando mu Kibuga Masaka,laddu bw’ekubye omusomesa ne mutta ate abasomesa abalala basatu n’abayizi munaana ne badusibwa mu dwaliro lya Kitovu hospital nga bataawa.Enjega eno ebaddewo mu bude bwa kumakya ng’abayizi n’abasomesa bamu kyebaggye bayingire ebibiina okutandika okusoma Abasimattuse bali mu ddwaliro e Kitovu bajjanjabwa.