Muky. Museveni agamba abawanduka mu masomero bakendedde olw’abonna basome
Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni agamba nti okukendeera kw’abayizi abawanduka mu masomero ku mutendera ggwa pulayimale, kuvudde ku kulafuubana kw’amasomero agali wansi w’e nkola ya bonna basome.Minisita agamba nti omwaka 2024 kizuuse nga kubaana abayingira P.L.E, ebitundu 1.3 ku kikumi beebawanduka mu masomero, bw’ogerageranya n’ebitundu 1.8 ku kikumi mu mwaka 2009.Kyoka mwennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abaayitidde mu ddaala erisooka, abakendedde omwaka guno bw’ogerageranya n’omwaka 2023.