‘MUSOMESA BIKI?’: Aba NUP bayitiddwa ku by’ettendekero ly’ebyobufuzi
Ekibiina kya National Unity Platform oba NUP kitegeezezza nga okuteekawo ebbanguliro ly'ebyobufuzi ku kyali ekitebe kyabwe e Kamwokya bwekitalina mateeeka gona gekimenya .Kino kiddiridde Poliisi okuyita abakulu mu kibiina kino bongera okubatangaaza ku byebasomesa mu kifo kino .Aba NUP bategeeza nti ekigenderwa kyabwe kubangula bakulembeze abaleero n'enkya kisobozese eggwanga okufuna abakulembeze abalimu ensa .Ekibiina era kitekateeka kuddamu kutalaaga ggwanga .