Palamenti eyambalidde gavumenti olw'ebibamba mu ggwanga
Palamenti etadde akazito ku gavumenti okubaako ky'ebannyonnyola ku nteekaateeka zaayo ku bibamba ebyeyongedde okugwa okwetoloola eggwanga. Kino kiddiridde ebibamba ebizze bigwiira eggwanga abantu nebafa kko n'okufiirwa ebyabwe nga kiva ku nkuba etonnya obutalasako.Ababaka balowooza nti gavumenti ebintu ebitwalira ddala nga byakusaaga kubanga tebalabanga ku ntekaateka yaayo ssejoloola ey'okukolanga ku bibamba bino nga biguddewo nga buli kadde eba mu kupapirira.