“Tukooye okubakwasa ekisa” Ssaabaminisita Nabbanja akangudde ku ddoboozi
Gavumenti eragidde abantu bonna bali mu bitundu by’ensonzi naddala e Bugisu ebyolekedde okukosebwa okubumbulukuka kwettaka okubyetegula mbagirawo nga ekizimba tekinasamba ddagala.ekiragiro kino kiweereddwa ssabaminisita Robinah Nabbanja , nga kino kiddiridde ettaka okubumbulukuka mu kiro ekikeeseza enkya ya leero e Bulambuli abantu abasoba mu 14 nebalugulamu obulamu.Tukitegedde nti waliwo obuwumbi munaana obuteekeddwawo okuduukirira ebigwa tebiraze nga bino songa abajaasi 500 bebawerezeddwa okuduukirira abakoseddwa.