Aba KCCA batandise okweepena entuula za ba kansala
Olutuula lwa ba Kkansala ba KCCA olubadde luyitiddwa okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez'enjawulo enkya ya leero lugudde butaka nga kino kiddiridde omuwendo gwa bakansala obutawera. Olutuula luno lubadde lwa kutandika ku ssaawa nnya ez'akalasa mayanzi kyokka wadde nga Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika atuuse mu budde ,zikoonye saawa taano nga ababaka 27 abetaagisa tebanawera. Sipiika atubuulidde nti obutajja bwa bakanasala bwekuusa ku njawukana za byabufuzi mu bakulira KCCA.