Aba PFF baagala Besigye ne Lutale bayimbulwe ku kakalu, bataddewo nsalessale
Bannankibiina ki People’s Front for Freedom batiisizatiisiza okulumba wofiisi ya akulira abalamuzi ba Kkooti enkulu singa wayita wiiki emu nga tebamanyisiddwa ddi nsonga z'abantu baabwe okuli Dr. Kizza Besigye ne Obeid Lutale lwezinatandika okuwulirizibwa mu kkooti enkulu gye zaasindikibwa. Omu ku bannamateeka b'abano era nga ye Ssentebe wa PFF Erias Lukwago,agamba waliwo vvulugu ali mu kuzannyibwa bbo gwe batangenda kukkiriza.