Obulamu oluvannyuma lw’emizannyo, waliwo abakanye n’okusomesa abazannyi okwetegekera
Eyaliko kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'abakyala - Crested Cranes, Majida Nantanda abakanye ne kaweefube w'okulaba ng'abazannyi abakyazannya omupiira baweebwa amagezi ku ngeri gye bayinza okwetegekeramu ebiseera by'abwe eby'omumaaso. Ono ng'ali wamu ne banne abaaguzannyako baakutegekanga emipiira mu bitundu eby'enjawulo okubunyisa enjiri y'okwetegekera wamu n'okufuna mu muzannyo guno. Mu ngeri y'emu enkola eno era yaakuyamba abaaguzannyako okuddamu okumanyika wamu n'okuyambibwa mu by'obulamu bwabwe obwabulijjo.