Aba UNBS bali mu kaweefube w'okusomesa ab'amakolero amatono
Abalimi n'abalunzi ababadde bettanira ennyo okutandikawo obukolero obutonotono okwongera omutindo ku byebafulumya, baagala ekitongole ky’ebyomutindo ki Uganda National Bureau of Standards kikendeeze ku bisale by’okukebera n’okukakasa ebintu byabwe. Bino webiggyidde ng’ekitongole kino kiri mu kaaweefube w’okusomesa abantu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo obulungi obuli mu kukakasa ebyamaguzi byabwe n’akabonero k’omutindo.