Ab’ateebereza obudde bakwekalakaasa, bagamba tebakyasasulwa misaala
Abakozi mu by'entebereza y'obudde batiisizza okwediima singa wiiki emu eyitawo ng’ensonga y'okubasasula emisaala gyabwe tegonjoddwa. Bano bagamba nti okuva ekitongole ky'ebyenteebereza y'obudde lwe kyagattibwa ku minisitule y'ebyamazzi, tebaddangamu kufuna musaala ate nga teri kunnyonnyolwa kwonna kwebafuna kuva mu bakulu.