Ogw’okutta Katanga:Omukugu mu by’emmundu atuuyanye
Omuserikale eyakola okunonyereza ku mundu egambibwa okuba nga yeyatta omugenzi Henry Katanga abuulidde kooti nti newankubadde yazuula obuganga ku ngoye za Namwandu wa katanga ne bawala be, kino tekitegeeza nti bebaasika emanduso okutta omugenzi.Bino omuserikale Derrick Nasawali abibulidde kooti , munnamateeka w’oludda oluvunaanwa Elison Karuhanga bwamutadde ku nninga anyonyole ku alipoota gyeyawandiika.