Ekitundu ku ddwaliro kigudde, abakulira eddwaliro baagalla yinginiya akwatibwe
Mu disitulikiti ye Hoima abatuuze n'abakulembeze bawuniikiridde ekitundu ku kisenge ekibadde kirina okujjanjabirwamu abalwadde abayi ku ddwaliro ekkulu ely'e Hoima bwekigudde nga tekinaggulwawo mu butongole. Ekisenge kino kyazimbwa ku bu buwumbi obusoba mu munaana , emyezi kumi na gumu e mabega - kyoka kibadde tekinaggulwaawo ekitundu ku kyo ne kiggwa. Kati abakulembeze batandise okunonyereza ku kiviiriddeko omutawaana guno.