Okutulugunya Abakazi: Mutoowe yamubbako eddya n’amwekobaanira
Waliwo omukyala mu district y’e Kamwenge alaajana olw’okumulemesa okulaba ku baana be emyaka egisukka mu ena lwa butakkaanya bwe yafuna ne bba. Bba yaganza muto we bombi ne beegattira wamu okulabya omukyala ono ennaku n’okutuusa leero. Agamba afubye okwekubira enduulu yonna gy’asuubira obuyambi mu b’obuyinza n’abakozesa omwami naye tannayambibwa. Emboozi eno yaakuttottolwa mu bitundu bisatu era leero kino kye kitundu ekisooka.