Eyalwala ekizimba ku luba alongoseeddwa olwaleero ku CORSU
Olwa leero omukazi gwetwakulaga gyebuvuddeko ng’alaajanira abazira kisa okumudduukirira akung’aanye sente alongoosebwe ekizimba ekyali kimuzimbye ku kalevu, lw’alongooseddwa mu ddwaliro lya CORSU e Ntebe oluvanyuma lw’abantu b'emitima emigabi okulaba emboozi ye ku TV ne basalawo okumukwatizaako. Bano beeyamye okumujjanjaba ne bw’anaaba amaze okulongoosebwa okutuusa lw’anaawonera ddala. Okusinziira ku Dr. Naomi Leah Kekisa, akoze eddimu lino, okulongoosa kuno kwa kutwala ekiseera ekiwerako.