Enkaayana ku Ttaka: Ab’e Bulambuli bali bubi ab’e Kween
Abatuuze mu ggombolola bbiri eziri ku nsalo ya Kween ne Bulambuli bali mu kutya olwa musiga nsimbi eyeesomye okubagoba ku ttaka kwe babadde balimira eriweza obugazi bwa yiika 1300.Bagamba waliwo musiga nsimbi owa kampuni ya Mitsubishi ayagala ettaka lino.
Kyoka omubaka wa pulezidenti e Kween Hope Atuhaire agambye nti waliwo abamu ku batuuze abaatunda ne batatemya ku banaabwe.