Abaagana okukima paasipoota baakuddamu buto okuzisaba
Tukitegeddeko nti Passport eziwerera ddala emitwalo kkumi n’etaano mu kankana zeezaasanyiziddwawo ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku nfulumya n'ennyingira y'abantu mu ggwanga nga kino kiddiridde bannyinizo okugaana okuzikima ate nga zaafuluma dda. Aba ministry y'ensonga z'omunda mu ggwanga batubuulidde nti store gye batereka ebintu byabwe zibadde zibooze kyokka nga baludde nga bakubiriza bannyini bitambuliso bino okujja babikime naye nga buteerere.Ono atubuliidde nti waliwo n'endala ezisoba mu mitwalo musanvu zebagenda okusanyaawo akadde konna kubanga nazo bannyinizo kirabika nga baazibalekera.