Ingrid, Nyanjura ne bannaabwe kkooti emaze n’ebbakkirizza okweyimirirwa
Amyuka Loodi meeya wa kampala Doreen Nyanjura, omukunzi w'ekibiina ki FDC ekiwayi ky’e Katongo Ingrid Turinawe ne bannaabwe abalala basatu bwe baakwatibwa ssabiiti ssatu emabega, kyaddaaki bakkiriziddwa okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti. Bano baali baagana okujja mu kkooti ku olunaku olwasooka okubaweebwa nga bawakanya eky'okubagaana okuggira mu byambalo bye baabaakwatiramu ebyaliko obubaka obulowoozebwa nti busasamaza.Basabiddwa buli omu emitwalo ataano nga ssi gya buliwo nga bbo ababeeyimiridde basasudde akakadde kamu nga nazo ssi zaabuliwo.