Eby’obulamu bw’eggwanga; bannakyewa baagala by’ongerwemu ensimbi
Bannakyewa bagala ababaka ba palament bakubirize gavumenti okuteeka ssente ezirina okuddukanya eby’obulamu n’ebyenjigiriza mu mbalirira y'eggwanga so sikubirekera abavujjirizi nga bwekibadde. Bano bagamba nti bukya gavumenti y'America eteeka envubo ku ssente ezaali ziyitta mu buyambiba kati eby’enjigiriza n’ebyobulamu mu ggwanga biri mu kasattiro.Bino byogeddwa olwaleero ababaka ku ludda oluvuganya bwe babadde basisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku butya bwe bandiyagadde embalirira yaabwe ebeere ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2025.