Abaakosebwa mu bulumbaganyi bwa bbomu omwaka oguwedde baliyiriddwa
Abaserikale ba poliisi wamu n'abantu ba bulijjo abaalumizibwa mu bbomu ezaategebwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo omwaka oguwedde, bafunye ku kamwenyu, oluvannyuma lw'okuliyirirwa olw'obuvune obwabatusiibwako. Ab'enganda zaabo abaafira mu bulumbaganyi buno nabo bawereeddwa ensimbi nga zonna zivudde mu yafeesi y'omukulembeze w'eggwanga.