ABAANA B’OMUPAKASI BATULI BUBI:Waliwo ba nannyini ttaka abasula ku bunkenke
Waliwo Famire e Masindi etadde olukongoolo ku poliisi yaayo okwekobaana n'ababbi b'ettaka batwaale ebya bawejjere. Okusinziira ku ba famire eno, abaana b'eyali omupakasi wa kitaabwe ate be babefuulira nebatandika okubagobaganya ewaabwe nga balumiriza nti kitaabwe yafa aguzeewo. Omu k bano alumiriza nti yatemwako engalo, kata n'omukono gwonna gugenderemu nga abaana b'eyali omupakasi bamulanga okulemera ku nsonga z'ettaka lyabwe. Poliisi mu kitundu kino yegaanye ebigyogerwako, nga bagamba basoose nakubiwulira ku ffe.