Ekayaana ku ttaka e Hoima:Minisita Sam Mayanja agumizza abatuuze
Minister omubeezi ow'ebyettaka , Sam Mayanja ayimirizza okugobwa kw'abantu abasoba mu mitwalo ebiri ababadde Basula ku tebuukye olw'okufuna okutiisibwatiisibwa kwokugobwa ku ttaka lye bamazeeko emyaka ne bisiibo mu Gombolola ye Kabaale mu district ye Hoima. Abantu balumiriza abantu okuva mu bukama bwa Bunyoro okuba e mabega w'ekikolwa kino. Bbwo obukama bwa Bunyoro bino bubyegaanye.