ABABAKA MUTEMBULI NE NAMUJJU: Kkooti ebagaanye okweyimirirwa, bazziddwayo ku alimanda
Oludda oluwaabi lwanjizza obujulizi bwe lugenda okukozesa okuvunaana ababaka ba palamenti abasatu abaakwatibwa ku bigambibwa nti benyigira mu buli bwenguzi. Muno mulimu amaloboozi agaakwatibwa akuuma akulira akakiiko k'eddembe ly'obuntu Mariam Wangadya keyajjanako , saako ebifaananyi ebya kkamera enkessi bwebaali ku Africana okukutula diiru eno. Cissy Namujju omubaka omukyala owa Distulikiti ye Lwengo ne Yusufu Mutembuli omubaka wa Bunyole East bakomezeddwawo mu kooti wabula baziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira nga kati balindiridde kutandika kwewozaako kuba omusango gwabwe ssaabawaabi wa Gavumenti alagidde kusindikibwe mu kkooti enkulu.