Abakugu balowooza omukago gwa PFF ne ANT tegulina mulamwa
Abaloondola eby’obufuzi kw’ossa bannabyabufuzi abamu, bakubye ebituli mu mukago ogwatandikiddwa ekibiina ki PPF ne ANT olunaku lw’eggulo, nga bagamba nti omukago guno si mulambulukufu ku bigendererwa byagwo. Bano era bagamba nti newakubadde okwegatta mu biibina ebivuganya kwetaagisa, obudde obusigaddeyo butono nnyo omukago gwonna okuba ogw’omuzinzi mu kalulu ka 2026.