Abalaalo mu bukiikakkono, abeesenza ku ffaamu ya gavumenti baggyiddwako
Ente ezisooba mu 6000 ze zakasengulwa okuva mu bukiika kkono bwa Uganda. Kino kiddiridde ekiragiro ekyayisibwa omukulembeze w'eggwanga nga kiragira abalaalo bonna okwamuka ebitundu ebyamambuka. Bano nga bayambibwako amajje, olunaku lw'eggulo baawereddwa layinsensi ezibakkiriza okutambuzza ente zaabwe. Kino kikoleddwa nga tebakakiddwa.