Abasaabaze basimattuse akabenje ka bbaasi akagudde mu tawuni ye Muhanga
Abantu abawerako bavuddewo n'ebisago oluvannyuma lw'a bbaasi ya Gateway ebadde eyolekera Kabale okulemerera omugoba waayo neyerindiggula ekigwo mu katawuni k'e Muhanga ku luguudo oluva e Ntungamo okudda e Kabale . Abasaabaze abasimattuse baddusiddwa mu malwaliro agalinanyewo omuli nerye Kabale. Ababaddewo ngakabenje kano kagwa bagamba nti omugoba wa Baasi abadde ataasa wa bigere.