Abasawo nakati bakalambidde nga Dr Kizza Besigye bwagwana okulaba abakugu
Abasawo nakati abakalambidde nga Dr Kizza Besigye bwagwana okukkirizibwa okufuna obujjanjabi ebweru w'ekkomera.Bano nga bakulembeddwamu Dr Ekwaro Ebuku bagamba wadde nga Besigye yasazeewo okuddamu okulya emmere, embeera y'obulamu bwe yetaaga obujjanjabi obw'ekikugu obusinga kw'obwo obuli mu ddwaliro ly'ekkomera.