Ttiimu y'eggwanga Silverbacks leero ayamabalaga ne Libya
Ttiimu y'eggwanga ey'abasajja abazannya omuzannyo gwe nsero, Silverbacks ekomawo mu nsiike ekiro ky'aleero nga bazannya Libya mu mpaka z'okusunsulamu abanaazannya empaka za Afrobasket omwaka guno.Silverbacks erwana kuwangula luzannya luno esobole okutangaza ku mikisa gy'abwe egy'okuyitawo oluvannyuma lw'okukubwa Nigeria mu kiro ekikeesezza olw'aleero.