Abasomesa bagamba engereka y’obubonero empya ejja kukola
Bino by'ebigezo bya ssiniya ey'okuna ebisoose mu Ntekaateka y'ebisomesebwa empya oba Curriculum era nga n'ensengeka y'obubonero nayo ebadde ya njawulo. Mu nkola enkadde, abayizi babadde bayitira mu madaala okuva ku lisooka mpaka ku bagudde, kyokka ku luno obubonero busengekeddwa mu ngeri ya Walifu oba Alpha bet ekitanagondera bantu bangi.Mu mboozi eno tugenda kukuyambako okutegeera ensengeka eno empya, obubonero bw'olaba buleme kukubuzaabuza.