Eddagala eriweddemu amaanyi, abakugu batandise okuyiiya eddala okulisikira
Abantu emitwalo musanvu be bateeberezebwa okufa munsi yonna buli mwaka nga kino banasayansi bakyesigamiza ku ndwadde ze bagamba nti tezikyawonyezebwa ddagala omuli Ampiciline, Amoxyline , contrimoxazole n'eddala. Bino babyogerede mu lukungaana lw'okukuba tooci mw'ebyo ebituukiddwako abasawo abeenyigira mu kuzuula ebipya mu byobulamu nga bakozesa tekinologiya okubadde ku ttendekero lya Mbarara University.