Olutalo e Congo; mmotoka z’ebyamaguzi ziganiiddwa okusala ensalo
Ebimottoka eby’etissi by’amaguzi bikonkomalidde ku nsalo ya Uganda-Katuna ne bikosa entambula y’emirimu oluvannyuma lw’ekitongole ekiwooza emisolo ekya URA okuteekawo ekiragiro ekibigaana okuyingira mu ggwanga lya DRC. Ekiragiro kyavudde ku busambattuko obuli mu DRC olw’okwagala okwerinda ebiyinza okutuuka ku byamaguzi ebitwalibwa.