Abantu ba NUP abaakwatibwa abaabwe beekalakaasizza bayimbulwe
Wabaddewo akajagalalo ku kooti enkulu e Masaka abawagizi b'ekibina ki NUP e Masaka wamu n'abalala okuva e Kampala bwe beekalakasizza nga beemulugunya olw’omulamuzi wa kkooti eno esookerwako Abudulla Kayiza okulwawo okuwulira omusango gwa bantu baabweBano kuliko Achileo Kivumbi, Gadaffi Mugumya ne Grace Wakabi Nabalala, abaakwatibwa gyebuvuddeko ne baggulwako ogw'okwonoona ebintu mu kuziika okwali e Masaka omwaka oguwedde. Bano ekisinze okubatanuula kwekugaanibwa abaserikale b'amakomera okuyingira mu kkooti ewabadde watereddwa abasibe bano.