Liilino essomero lya Mihembo Primary School eriri obubi ddala
Abakulu ku ssomero lya Mihembero primary school, erisangibwa mu ggombolola ye Bwijanga mu district ye Masindi benyamivu olwe ssomero lino obutaba na kabuyonjo zimala, ekitadde obulamu bw'abasomesa n'abayizi ku nninga. Essomero lino liyina abaana abasoba mu 400, kyoka okusinziira ku bakulu ku ssomero lino, abaana n'abasomesa bakozesa kaabuyonjo emu.