Abatuuze baagala baweebweko ettundutundu ku ddundiro ly'e Acwa
Enkyayana ku ttaka wakati w’a government n’abatuuze mu district y’e Pader nga ziva ku ttaka okutudde faamu ya government eyitibwa Aswa Ranch ziremesezza enteekateeka za government nyingi okugenda mu maaso. Gy’ebuvuddeko gavument yagula ebyuuma ebikozesebwa mu bulimi gamba nga tulakita ezirima, ebyuuma ebikabala, ebisimba ebimera, ebifuyira omuddo n’ebirala ebiri ng’ebyo nga museera kino biffa tulo ku ddundiro lino nga tebisobola kozesebwa olwa nkayana ku ttaka. Minisita omubeezi avunanyizibwa ku kitundu ky’amambuka ga Uganda Dr. Keneth Omona awubyeeko olubu lw’ekigere ku faamu eno okwetegereza ensonga zino era yavuddeyo ssi musanyufu kubanga ebigendererwa byalyo tebikukirizibwanga.