UBOS eyanukudde ku bya Buganda obutaba ku maapu ya Uganda
Ekitongole ekikola ku by’ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics kitangaazizza ku maap ya uganda ebadde etambuzibwa ku mitimbagano nga eraga nga Buganda bwetakyali ku Maap ya uganda. Ayogerera ekitongole kino kino Didacus Okoth atugambye nti byetulaba ku mitimbagano ngambo za bantu, bbo maap entuufu gyebamanyi yeeyo eyafulumizibwa mu alipoota eyokubala abantu ey’omwaka 2024 era nga ebitundu byonna ebya Uganda mwebiriAsabye naddala abaganda okwetegereza ebiwandiiko ebituufu sosi kugoberera ng’ambo.