Abavubuka ba ‘NRM’ ab’effujjo, poliisi yaakakwata 30, baakusimbibwa mu kkooti
Tukitegedde nti poliisi ewezezza omuwendo gwa bantu 30 abaakakwatibwa ku fujjo eryakoleddwa abalowoozebwa okuba abawagizi b'ekibiina ki NRM ku Lwomukaaga oluwedde eryabaddemu okulumya n'okunyagako abantu ebyabwe.Okusinziira ku mwogezi wa poliisi Kituuma Rusoke, poliisi yeyaambisizza obutambi bwa kkamera ennawunyi okutegeera abavubuka bano, era akadde konna baakutwalibwa mu kkooti babitebye.NRM ekyanyweredde weyasibidde nti bano si bawagizi baayo era tebamanyi.