Abayimbi balabudde bannaabwe abatambula n’ebibinja
Obubinja bw'abavubuka abakozi b'effujjo abatambula n'abayimbi abamu bukyali ku mimwa gy'abangi oluvannyuma lw'ekibinja kyabavubuka b'omuyimbi Alien Skin okulumya abantu mu kivvulu Kyenkuuka n'okulumba omuyimbi Pallaso ku kivvulu kye Mpere, ekyaviirako akabinja ke nako okuwoolera nga konoona ebintu by'ekibiina kya Alien Skin.Abamu ku bayimbi abaludde mu mulimu guno balabudde nti singa abayimbi bano tebakoma ku nneeyisa yaabwe bangdigwa mu buzibu n'omulimu gwabwe ogwokuyimba gusaanewo. Aniwalu Katamba ayogeddeko n'omuyimbi Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raga Dee ssaako n'abamu ku bategesi b'ebivvulu abaludde mu mulimu.