Abeesenza ku ttaka lya Botanical e Ntebe batandise okulisengukako
Amaka agasoba mu mu 40 gasenguddwa ku ttaka lya Entebbe Botanical Gardens erirudde nga liriko embiranye.Kyokka ensonga zino oluvanyuma lw'okugonjoolwa era abantu abeesenza ku ttaka ne bakkiriza nti ddala webali si waabwe, ekitongole ki UWA ne UWEC oba Zoo babayambyeko okusenguka.UWA etubuulidde nti esuubira okukulaakulanya ekifo kino kyegombebwe era kisikirize abalambuzi.