Afande Sam Omala bamusabidde ku lutikko e Nakasero
Olwaleero omubiri gw’omugenzi Sam Omala eyali omuserikale wa poliisi gusabiddwa ku kanisa ya all saints e Nakasero nansiimwa olw’emirimu gyeyakolera eggwanga mu kaseera weyawerereza wansi wa poliisi ye ggwanga.
Kyoka Ssentebe wa NRM mu bugwanjuba bw’eggwanga Mike Mukula era nga y’akulira kampuni Arrow Security Systems gyabadde akolera atabukidde abakulira Poliisi ng’agamba nti bano tebasiimye musajja eyabaweereza n’obulamu bwe bwonna , ne ku mukolo ogw’okumusabira mpaawo ku bakulu abaddewo.
Ono asuubirwa okuziikibwa ku lwomukaaga lwa sabiiti eno e Tororo.