Lukwago akyalidde ku baakoseddwa omuliro mu kibanda ky’embaawo
Loodi meeya w'ekibuga kampala Erias Lukwago akyalide ku basuubizi be mbawo mu Ndeeba abafiirwa obukadde nobukadde bwe nsimbi mu muliro ogwasanyaawo ebibanda byabwe ku bbalaza ya sabiiti eno.
Asaasidde abasuubuzi olw'okufiirwa ebyabwe, kyoka n'anenya nnyo poliisi ezikiza omuliro olw'okutuuka ekikeerezi nga eyitiddwa .
Bano aliko obuyambi bwabawadde basobole okuzaawo ebifo byabwe ebyasaanawo.