Akamyufu e Rwampala ne Rubanda: Ab’eby'okulonda bakwatiddwa, amasasi gaanyoose e Rubanda
Mu disitulikiti ye Rwampala abakulira eby’okulonda bakwatidwa ne baggarirwa, nga kino kiddiridde okulangirira omuntu agambibwa okuba nti yabadde n’obululu obutono. Bano okukwatibwa kyaddiridde okusooka okulangirira Molly Asiimwe nga eyawangudde bendera yekifo ky’omubakaomukyala, kyola bwebyawakanyiziddwa ate nebalangirira Annah Kansiime - ekyawaliririza RDC okulagira bakwatibwe.. Ate yyo mu disitulikiti ye Rubanda waabdewo okutulika kw’amasasi minisita Henry Musasizi bweyagezezaako okuwamba empapula okwabadde kuwandiikidwa obululu.