Vipers SC eyanjudde Ivan Jacky Minnaert ng'omutendesi waayo omupya
Vipers SC eyanjudde Ivan Jacky Minnaert ng'omutendesi waayo omupya. Minnaert agenda kukolera wamu ne John Luyinda ne Fred Muhumuza, abatendesi ababiri abaawangulira Vipers ebikopo sizoni ewedde. Minnaerrt abadde atendeka ttiimu ya Fassell mu ggwanga lya Liberia nga bano yabawangulira ekikopo kya liigi sizoni ewedde.